Ku nkomerero ya sabiiti ewedde, munayuganda Zari Hassan ng’ono amanyiddwa nnyo nga munamyerago yategeka akabaga ke akawagalawo omwaka keyatuuma “All White Party” kweyakyaliza mikwano gye mu mawanga agenjawulo saako nabawagizi be era ddala ekyali wali kyali kitokota sikisanikire era owenjogera enyangu agamba nti kyali talatibu ngoluwombo lwamaggi.
Ku kabaga kano kenyini era nga webagamba nti ku mbaga tekubula musiwuufu, ate waliwo omuntu kyalakimpadde atategerekeka eyesolosa bwatyo nabba essimu ya Zari ekikolwa ekitanyumamu yadde nakatono era mu kiro kyekimu Zari saako ne muninkini we Shakib Lutaaya bagenda ku mikutu gyabwe ji mugatabantu(soso mediya) okulaga okwemulugunya kwabwe ku kikolwa kino era nebegayirira yenna eyali atutte essimu eno ey`ekika kya samsung S2O Utra okujikomyawo mu bwangu kubanga mu ssimu eno mwalimu ebintu ebyomugaso Zari byeyali ayagal ennyo okugeza ngebifananyi byabana be byeyali tayagala kufiirwa mu mbera yonna.
“Mukimanyi bulunji ndi mukyala mugagga era nsobola okugula amasimu ngago kkumi nembera nago wabula eno gyebabye mulimu ebifananyi byabana bange ebiraga byetuyisemu nabo era siri mwetefutefu kubifiirwa”- Zari weyagamba mu kaseera essimu weyabibwa.
Ababbi nga webali abakalabakalaba ngobwana bwomusota, obubaka bwa Zari kirabika babuwulira era essimu wetwogerera nga bajiddiza muninkini wa Zari Shakib Lutaaya wabula si ku bwerere okusinzira ku Zari byanyonyola.
“Essimu yange kyadaaki najifunye okuva ku baali bajitwala wazira ekyenaku kumpi buli kyabaddemu kyasiimudwamu era omubbi eyali yajitwala obwedda akubira omulenzi wange okujimuddiza singa abeerako ssente zamuwa. Omulenzi wange yagambye omubbi ono nti babereeko webasisinkana bakikwasaganye wazira omubbi teyabadde mwetefuteefu tusisinkana”- Zari bwayogera.
“Omubbi yatugambye nti tasobola kutulaba kubanga tugya kwagala okumusiba era naffe netubima amazzi wazira ennamba endala ezenjawulo obwedda zongera okukubira omulenzi wange paka weyayanukudde essimu era bakira bamugamba nti essimu bajirina buterevu”-Zari ayongerako.
“Mu bumpimpi, essimu yange ababbi ate bajituguziza bupya era kati njirina wazira nga buli kimu kyasangudwa. Guno si muzannyo ababbi nga bano webali buterevu mu Kampala era buli omu abeere bulindala”-Zari beyakomekereza.