Celebrity Gossip

Lumbe Kki Olubala Omuyimbi King Saha Embirizi?

Saha ng’ono nno yeyakuyimbira obuyimba nga “Mulirwana”, ” Zakaayo” n`endala nyinji yakozeseza omikutu gye egya soso mediya okusaayo ekifananyi kye ng’ali ku kitanda bakira bali mukumuwa bujjanjabi ekintu ekyeralikiriza ennyo abawagizi be saako n’emikwano gye.

Wetuwandikidde eggulire lino nga tewanabawo yenna ategedde bulwadde butuufu busumbuwa Saha wazira abamu nga bawanuuza nti oba osanga embera eno gyalimu evudde kukubera nga tawumula kimala akageri gyakola misana nakiro sabiti ku sabiti nga nabandi bagamba nti ali ku “bubadi” okufunirako okusasira nga nanti ne konsati yye eya “Zakayo” eyengedde.

King Saha

Gyebuvuddeko katono Saha alabikidde nnyo mu mawulire ng’agugulana ne munamawulire wa KFM Brian Mulondo weyali alangira Saha okuwunya obubi saako n’okumulangira okukozesa ebiragalalagala.
King Saha y`omu ku bayimbi abatono ennyo ababdde n`enyimbi ezamannyi mwaka ku mwaka okuviira ddala lweyayingira ekisaawe ky`okuyimba ng`ava mu kibiina kya Jose Chameleone ekya Leone Island mu mwaka gwa 2012 era Saha ono y`omu ku bayimbi asinga okubeera n`abawagizi abanji mu Uganda nga buli w`omutwala okuyimba gwe wamma takusala.

Tumwagaliza okusuuka okw`amangu.

EBIRALA 

Equalizer: King Saha Sends Brian Mulondo To The Dogs: “I Don’t Know Him and He Might Be Working On A Dumb Radio Station”

Author

See also  Mikey Seems 2 Funny Wins The Funniest On Tiktok Award- Video
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top