Entertainment News

Olutalo lwa Bobi Wine ne Kenzo Lulanze, Muzeemu Ebya Martin Beta Okubeera Ow`amagye Agawamba Abantu

Wabalusewo olutalo ffuge mu nkambi yomuyimbi nakinku Eddy Kenzo oluvanyuma lwa manager we Martin Beta okulumirizibwa omuntu omu ku mutimbagano gwa twitter ngagamba mbu Beta akolera ekitongole kya CMI ekiri wansi weggye lya Uganda ezibizi erya UPDF era mbu Beta ono alina omukono mu kuwambibwa kw`abanayuganda okukudde ejjembe.

So @eddykenzoficial is managed by a one Muhumuza Martin, an officer with the UPDF attached to CMI in charge of these recent abductions!

Well, like I said…it’s up to Kenzo explain to his unsuspecting followers. pic.twitter.com/z20uwu6UOR

— Kayabula Lukyamuzi Edd (@KayabulaE) December 4, 2022

Alumiriza Martin Beta yye Kayabula Lukyamuzi Eddy ngera okusinzira ku byateeka ku mukutu gwe ogwa twitter, kiraga lwatu nti muwagizi lukulwe owekibiina ky`ebyobufuzi kki National Unity Platform(NUP) ekikulemberwa omuyimbi eyafuuka munabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Kayabula ku lunaku olwa Sunday ngasinzira ku mukutu gwe ogwa Twitter, yawandise ng`abuuza omuyimbi Eddy Kenzo enkolagana gyalina ne Martin Beta era namuwa akasera katono nnyo agye anyonyole eggwanga ku nsonga ezo nti oba sikkyo, mubwangu ennyo Kayabula agenda kuta akaka.

Omuyimbi Kenzo bino tebyamuyugudde ttama era yabitunulidde kyamuli ngesalambwa eryensenke ekyatanudde kayabula okomawo nawandika ngategeza abagoberezi be ku twiiter nga Martin Beta wali omukozi wa CMI omujjuvu ali emabega wekiwamba bantu era nga yawerekerezako ebifananyi bya Martin Beta ngekimu ku byo Beta yenanise ekyambalo ekyefananyiriza okubera ekyeggye lya UPDF ngeno bakira akalakanye nekyalabise okubera omugemera wala.

Webukeredde ku lunaku olwa Monday nga Eddy Kenzo akubye enkyukira ngayanukula ebigambo bya Kayabula wazira mu ngeri yokubalaata erowozebwa nti ebadde ekyokoza abawagizi bekibiina kya NUP ababadde bagufudde omuzze okwogerera Kenzo amafukuule kasita yabesamba gyebuvuddeko n`agaana okwegata ku kisinde kyabwe.

Nze obwedda ndy’eno nkayana nabantu nti taja gasima ate topic yakyuseda!! nga ndi mabega nyo Banange mungamba ngako nemanya nti oli twamuvako kati tuli kwono other wise nfwaaaa nseko cheiiii

— Eddy Kenzo (@eddykenzoficial) December 5, 2022

Enkolagana Ya Eddy Kenzo ne Bobi Wine Eyimiridde Wa?

See also  POLITICAL SLOGANS IN UGANDA: DO THEY CHANGE ANYTHING?

Kimanyiddwa lwattu nti Bobi Wine mu biseera ebikadde yayambako Eddy Kenzo weyali atandika olugendo lwe mu kisaawe kyokuyimba era noluyimba Kenzo olwamuleta mu bantu "Yanimba" ya`luyimba ne muto wa Bobi Wine amanyidwa nga Mikie Wine era nga lwakolebwa mu studio ya Bobi Wine.

Ababiri bano Eddy Kenzo ne Bobi Wine enkolagana yabwe ebadde nunji nnyo era nga buli omu alina engeri gyawagiramu munne okutuusa ejjo lyabalamumu mu 2020 Eddy Kenzo weyavayo nabaako ebyama byayogera omwaali okukissa ku Bobi Wine nti kirumira mpuyi bbiri, eyefuula obusa bwembogo obukala ku ngulu nga munda bubisi mbu era agezako okulwana bayimbi banne asobole okusigala nga ye nnume yokka mu lugya.

Eddy Kenzo oluvanyuma lwokwogera ebigambo ebyo ku Bobi Wine, enkolagana yabwe yagyamu kigoye weziinge era nga emirundi minji abawagizi benjuuyi zombi ku mikuti egyenjawulo babadde nga bawanyisiganya ebigambo ebikaawu ennyo era nga n`omwezi oguwedde Eddy Kenzo weyali atekateeka ekivulu kye ekya “Eddy Kenzo Festival”, abawagizi ba Kyagulanyi bakola kampeyini eziwerako ezali zirubirirwa okukumamu abantu omuliro baleme kugenda ku kivulu ekyo.

Ekyo wattu tekyamala era abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi webalaba nga Kenzo afunye nominesooni mu mpaka za "Grammy", bafuuba okugamba abantu baleme kuwagira Kenzo nomulundi ogumu mu mpaka ezo era nga bakira bagamba banaYuganda bawagiremu omuyimba OmuNigeria Burna Boy ali mu ttuluba lyerimu ne Kenzo mu mpaka zinno. Wetuwandikidde eggulire lino nga Martin Beta ayogerwako okubeera emabega wokuwamba abantu tanaberako kyayanukula wazira abalabira ensonga zino ewala betwatukiridde bagambye ng`ensonga za Kayabula wezziri ezobwewussa, omutali nsa yadde wazira ezigendereddwa okusiiga Martin Beta enziro.

See also  Tanzania`s Harmonize faces jail time for doing a "weed" song with Konshens

Tugya bba twongera okubabulira ku byona ebiyinza okuddirira ku nsonga eno.

For the Very first time, Uganda’s Number one Artiste Eddy Kenzo meets with Dr. Hamzah Ssebunnya who is currently the Husband to Rema Namakula ex-wife to Eddy Kenzo.

No one has ever believed that Eddy Kenzo has that hospitable heart to ever rub shoulders with the Man who took the love of his life. “Amazing”

They have shared a moment together and this has caused mob reactions from Revelers. Fans from both Team Eddy kenzo and Remas are all left in shock and shame since they have spitting fire for them selves since 2019 when Rema Eddy Kenzo’s Wife got Married to Dr. Hamzah Ssebunnya.

Lets hope all the Cyber wars that have been arising everyday from both camps have some to an end now since the 2 Husbands have shown green light for each other.
See Video

Eddy Kenzo Meets With Dr Hamzah Sebunnya

The video clearly shows maximum Maturity for both.

To cleay clarify that its not social media Propaganda, Kenzo went ahead and posted on his Facebook page that he also took time and met with Late Sheik Nuhu Muzaata before his death. So when he met Dr Hamzah. He couldn’t hesitate having some time together.

Author

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top