10 / 100
Bad Black oba amanyiddwa abangi nga Shanitah Namuyimbwa kikakasibwa bulunji ng`omu ku bakyala mu Uganda abaterya ntama ng`era tanyigirwa mu nnoga wabaako kyona ky`ayagala okwogera nadaala nga kikwata ku bulamu bwe.
Kinajukirwa nti Namuyimbwa ono yakyaaka nnyo emyaka egiyise mukumanyibwa nnyo ng`omuli w`ensimbi nakinku zeyafuna mu kufera omuzungu eyali muninkini we David Greenhalgh ezikunikiriza mu za`bungereza obukade buna ekyamutwaza mu nkomyo e Luzira gyeyebaka emyaka ejikunukiriza mw`ena.
Omukalukalu ng`awatagya busera, weyabuziddwa banamawulire ku lunaku olwa mmande oba omuze gw`okukulupya n`okuwuwutanya ssente z`abasajja anagukomya, yabazeemu kimu nti tayinza kulekerawo muze ogwo kubanga bamuzaala nagwo.
“Temulina kyemungamba nze, nazalibwa ndi mubbi era sijja kulekera awo paka kuffa”, Bad Black bweyayogedde.
Weyabuziddwa ku nsonga y`okuzalira omuninkini we gwalina kati amanyiddwa nga Asha Panda, Bad Black yagambye nti akyetagira ddala nnyo wabula kumulundi guno ayagala omwana wa Asha amuzalire mu kibuga ky`America ekikulu, New York.
“Nja kumuwa omwana, mbadde nkyali mukwetegeka. Omwana oyo njagala muzalira mu New York mu mottoka ya Lamboghini. Entekateka zino zonna njagala zitukiriza omwaka gujja.
Bad Black yayongedde nategeza nga bwayagala okuddamu okuzala abaana abawerako mukaaga be ddu olwo awamu akome okuzaala ku myaka ana mw`etano ng`alina abaana kkumi, mbu olwo akole ebirala.